Psalms 132:1-5

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Ayi Mukama jjukira Dawudi
n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

2 aNga bwe yalayirira Mukama,
ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4Sirikkiriza tulo kunkwata
newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5 bokutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
Copyright information for LugEEEE